Psalms 49

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

1 aMuwulire mmwe amawanga gonna,
mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
2Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
muwulirize ebigambo byange.
3 bKubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
4 cNnaakozesanga ebikwata ku ngero,
nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

5 dSiityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
6 eabantu abeesiga obugagga bwabwe
beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
7Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
wadde okwegula okuva eri Katonda.
8 fKubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
tewali n’omu agusobola;
9 galyoke awangaale ennaku zonna
nga tatuuse magombe.
10 hKubanga n’abantu abagezi bafa;
abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 iEntaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 jAko ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 kOkufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
obulungi bwabwe ne bubula,
amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 lNaye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
ddala ddala alintwala gy’ali.
16Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
tomutyanga,
17 mkubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 nNewaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 okyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 pOmuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.
Copyright information for LugEEEE